Zephaniah 2:4-7

Obubaka eri Abafirisuuti

4 aGaza kirirekebwawo,
ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5 bZibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
so tewaliba asigalawo.
6 cOlubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
7 dOlubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
n’akomyawo obugagga bwabwe.
Copyright information for LugEEEE